Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte omukazi abadde abba abasajja abamukwana

July 22, 2020 · Mubiru Ali
Poliisi ya Kampala Metropolitan Police ekutte omukazi Judith Atukwase aka Elizabeth Amanya nga kigambibwa nti ono abadde awa abasajja ebiragalalagala nabba ebintu byabwe. Ono yakwatiddwa Kyengera oluvannyuma lw’okubba omusajja eyamututte ewuwe nasiba buli kimu ekyabadde mu nnyumba.
Ono abadde ateega abakola mu bbanka, Bannamateeka, Bannamawulire, Abasawo wamu n’abasuubuzi.
Ono omusango agukirizza nategeeza nti alina ekibinja ky’abanne abalala okuva e Nigeria n’ensi endala bakola nabo.
Uganda Police Force egamba nti emusanze ne TV, woofer, amasuuka, laptop n’ebintu ebirala ebyomunnyumba.