Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 654 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Poliisi ekutte omubbi e Masanafu

June 11, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi enkya ya leero ku ssaawa nga kumineemu ez’okumakya yakoze ekikwekweto mu zzooni y’e Kinoonya ku kyalo Masanafu mu Divizoni y’e Lubaga mu Kampala oluvannyuma lw’okutemezebwako mwesoboledde okuzuulira emmundu.

Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi, era omu ku basirikale ba Poliisi nalumizibwa. Omubbi omu abadde n’emmundu akwatiddwa nga ategeerekeseeko erya Mulunda Stanely.

Wabula ye munne yadduse nga ye Kasirye Richard, nga bano bombi babadde bapangisa ennyumba omusangiddwa emmundu 2, magaziini 2 nga mulimu amasasi 32, nnamba y’emotoka UAM 046J, ennyondo wamu n’ebiwandiiko ebyefaananyiriza ebya Kkooti.