Poliisi ekutte motoka bbiri ezirina ennamba yeemu

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force mu Kampala ekutte emotoka 2 nga zino ziriko ennamba ezifaanagana. Zino kuliko Toyota Harrier nga nzirugavu wamu ne Subaru Forester nga njeru zino nga zombi zirinna ennamba UBG 129Y.
Okusinziira ku bambega ba Poliisi bagamba nti ennamba z’emotoka zino zombi zirabika nga ntuufu kyekyabaleetedde okuwandiikira ekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) okumanya ebisingawo.
Omumyuuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Oweyisigyire agamba URA ebadde tenabaddamu. Poliisi okuzuula kino kyavudde ku Poliisi y’ebidduka okuyimiriza James Echeku, Ddereeva wa Harrier olwobutasasula bipapula byangasi, wabula neyegaana nti ye takubwa nga kipapula kyonna kuba emotoka ye agivuga bwomu. ASP Owoyesogyire agamba nti kino kyaleetedde abasirikale okunoonya ebikwata ku oyo eyabadde avuga emotoka erina ennamba yeemu, Ddereeva wa Harrier gweyagambye nti tamumanyi.
Luke agamba nti Ddereeva wa Harrier yagenze wabula nasigala nga anoonyereza ani akozesa ennamba yemu neyiye.
Nannyini Harrier yakubidde Poliisi nagitegeeza nga bwalabye Subaru ngerina ennamba yeemu neyiye, era abasirikale basitukiddemu mangu nnyo nebagezaako okuyimiriza emotoka eno, Ddereeva bweyayimiridde nabuukamu mu motoka nadduka. Emotoka zombi zikuumirwa ku Poliisi ye Natete.
Poliisi egamba okusinziira kukunoonyereza kwekoze kulaga nti nannyini Subaru yakozesa ebikwata ku nnanyini Harrier byonna okuli amannya, third party nayo eri mu mannya ga nnanyini Harrier.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro