Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 440 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

poliisi ekutte eyawambye omwana namutta

January 31, 2019 · Mubiru Ali
Poliisi e Bulenga ekutte era neggalira Deo Mukisa omutuuze w’e Kireka Bbira Nakabugo mu Disitulikiti y’e Wakiso kubigambibwa nti yawamba era nasaddaaka omwana ow’emyaka 4 Elvis Kibuule.
Kibuule yabula nga 24-01-2019 era nga Poliisi mu kukola okunoonyereza kwaayo yakutte Mukisa era nakiriza okuwamba wamu n’okutta omwana ono. Poliisi olunaku lw’eggulo nga 30-01-2019 yasobodde okuzuula omulambo gwa Elvis ogwabadde gusuuliddwa mu kisenyi e Kireka Bbira.
Mukisa era yatutte Poliisi mu kifo weyasuula omulambo gwa muganzi we gweyali asse ennaku ntono nnyo emabega ko nga tanatta Elvis.