Poliisi ekutte eyakulitamu okutoloka mu kkomera e Moroto

Poliisi nga eri wamu n’eggye lya UPDF olunaku lweggulo bazudde emmundu ekika kya SMG.No.UG.POL.56-5968030-40693 n’amasasi 14 mu Disitulikiti ye Kotido.
Emmundu eyazuuliddwa yakitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service -UPS nga yabibbwa abasibe abatoloka okuva mu kkomera e Moroto omwaka oguwedde.
Bano era bakutte Lokolikau Lochu 40, eyakulemberamu abasibe abatoloka okuva mu kkomera nga yeyasingiddwa n’emmundu eno ngabadde agikozesa okubba ente mu Karamoja Sub-Region.

Leave a Reply