Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 112 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Poliisi ekutte eyabbye emmwaanyi e Mityana

April 2, 2024 · Mubiru Ali
Ttiimu ya Uganda Police Force eya K-9 e Mityana yayitiddwa oluvanyuma lw’omutuuze omu Kayima Madi omutuuze ku kyalo Kitaliza, Kamuseenene Parish mu Kiganda Sub-county okwekubira enduulu ku Poliisi y’e Kiganda nga bwewaliwo omuntu eyabbye emmwaanyi ze ku musiri.
Poliisi yatutte embwa yaayo enkongalusu mu musiri webabbye emmwaanyi era bwetyo nebakulembera okubatwala olugendo nga lwa kiromita 1 mu nnyumba ya Kanyikera Raphael ku kyalo Bugayo, era bwebayazizza ennyumba ye nebasangamu emmwaanyi ezakanogwa. Raphael yategeezezza nti emmwaanyi zino sizize nti waliwo eyazimuleetedde kuba yakitegeddeko nti ayagala emmwaanyi wabula nagaana okumwogera.
Era mu ngeri yemu ttiimu ya Poliisi eya K-9 mu Disitulikiti y’e Bushenyi yayitiddwa bukubirire okuyamba okuzuula eyabbye nnamba z’emotoka era embwa yabatutte ewa Agaba Alvin, ono nga yabadde yakayimbulwa ku misango gyegimu egyokubba ennamba ez’emotoka.
Agaba bweyalabye Poliisi neyeyokya ekibira era nga kati Poliisi emuyigga.