Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte Director wa BLQ

June 23, 2023 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga bambega bayo olunaku olwaleero bwebakutte Munnansi wa China Yinghe Chen 43, nga mutuuze mu UCB Zone mu Bukoto 1, Nakawa Division mu Kampala.
Kino kyaddiridde okunoonyereza okwakoleddwa aba National Cyber TaskForce ku bigambibwa nti Kkampuni ya Acclaim BLQ Sports SMC, ne kkampuni endala 5 zeyali ekola nazo zabba abantu.
National Cyber Taskforce erimu ebitongole okuli; CID, Crime Intelligence (CI), ISO, ESO, CMI, Bank of Uganda, NIRA, NITA Uganda, Uganda Banker Association, n’ebirala. Kati abakakwatibwa ku bubbi obwakolebwa BLQ baweze 5.
Nga 11.05.2023, Poliisi yakwata Awori Mary, mukyala wa Yinghe Chen era nga yali omu ku ba Director ba Acclaim BLQ Sports SMC. Nga 12.06.2023, Poliisi yakwata Akoth Justine Oboth, Achola Mary, ne Biira Shamim. Bano batwalibwa mu Kkooti nebavunaanibwa.
Poliisi egamba nti kirowoozebwa nti BLQ yanyaga abantu abasoba mu 6000 nga bafiirwa obuwumbi obusoba mu 4. BLQ yali ekozesa ” You lose, You win” ekyasikiriza abantu okwenyigiramu.