Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 605 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte Ddereeva wa Takisi abadde ayagala okwetta

July 13, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu Kampala ekutte Mutwahilu Bogere Wasswa, 24 ono nga Ssentebe wa siteegi ya takisi eya Bweyogerere – Bukasa mu Ppaaka enkadde lwakugezaako kwetta.
Kigambibwa nti Ddereeva wa takisi ono agenze mu maaso ga City Hall mu Kampala n’akadomola ka liita 5 aka petulooli wamu n’ekibiriiti n’ekigendererwa eky’okwekumako omuliro.
Ono abadde agezaako okulaga obutali bumativu bwe nga awakanya ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okukwata emotoka ezibadde ku Burton Street nga zitikka abantu nga tezirina route chart.
Ono akuumirwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala nga aguddwako emisango okuli okugezaako okwetta.