Breaking
News: Minisitule yebyentambula ngeri wamu ne Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka batandise okukebera emotoka ennene okukakasa nti zisaanidde News: Omubuka akiikirira Nyendo-Mukungwe mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform, Hon. News: Tamale Aloysius aka Young Mulo ne munne Mugisha JohnBosco baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 150 lwakutta bavuzi ba booda booda nokubba
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 299 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte basatu e kanungu

February 25, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi e Kanungu ekutte abantu abgiyambeko mukunoonyereza ku byokutibwa kw’omukyala ow’emyaka 60 nga ono Maama waabwe. Margaret Mugisha nga mutuuze w’e Ibarya cell Kihanda Parish, Kirima S/C mu Kanungu Disitulikiti ye yatibwa nga 22/02/19 mu makaage.

Abakwate kuliko Ngorogoza Yonah, Asiimwe Jorry n’omu eyategerekeseeko erya Herbert nga bano kigambibwa balina obutakaanya n’omugenzi ng’entabwe eva ku ttaka.

Kigambibwa nti Omugenzi yali abeera nebazzukulu be babiri nga era weyafiira bano baali bali ku ssomero era nga bwebakomawo basanga ennyumba nsibe nga ne Jajja waabwe taliiwo.

Bano baddukira ewa Herbert okumutegeeza kuba mulirwana waabwe natafaayo era nabagamba bagende basule mu nnyumba endala era enkeera Herbert yagenda nategeeza Ssentebe wa LC1 Jesica Tindimwebwa nga nnyina bwatalabikako era bweyatuuka awaka bamenya oluggi, Mugisha nasangibwa nga agudde wansi yafudde dda era nabagenda ku Poliisi nebagitegeeza nga bweyetuze n’omuguwa.

Poliisi yatuuka mu kifo neyekebejja omulambo era negutwala mu ddwaliro lya Kanugu Health Centre IV nekizuulibwa nti omugenzi yatugibwabutugibwa.