Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 261 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

poliisi ekutte bannakenya babiri lwakunyakula kasawo

February 6, 2019 · Mubiru Ali

Abasajja babiri nga Bannansi ba Kenya bakwatiddwa mu Kampala oluvannyuma lw’okusika ku mukazi ensawo ye ey’omu ngalo. Abaakwatiddwa kuliko; Chrispin Kanyuira Macharia, nga mutuuze w’e Nyandarua North, wamu ne Peter Kamau Wanja, abeera e Nyari Central.
Bano baakwatiddwa abantu wabula Poliisi yayanguye okubataasa ku bantu abaabadde besomye okubamiza omukka omusu.
Oluvannyuma batwaliddwa ku Poliisi ya CPS enkulu mu Kampala nga ne gye buli kati gye bakyakuumirwa nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Okusinziira ku Poliisi, ensangi zino abantu beegumbulidde omuze gw’okunyakula ensawo z’abakazi wakati mu kibuga era ng’ababbi ab’ekika kino, baliko abavuzi ba bodaboda be bakolagana nabo.