Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 698 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte babiri ne sitiika z’emotoka ez’ebiccupuli

April 22, 2020 · Mubiru Ali

Ab’ebyokwerinda nga bakolera wamu ne Uganda Police Force bakutte abasajja babiri lwakuvuga motoka nga bakozesa sticker enjigirire.Besigye Denis yakwatiddwa nga avuga motoka nnamba UBB 721K ne Luswata Nasif nga yabadde avuga UBE 599S bebakwatiddwa ku kitebe kya Police e Naguru.Bano baguddwako emisango okuli okukuba sitiika ez’ebiccupuli wamu n’okweyita kyebatali.Poliisi egamba nti ekyakola bikwekweto okukwata emotoka zonna ezitambula nga tezirina sitiika wamu n’abalina ez’ebiccupuli.