Poliisi ekutte babiri abenyigira mukumenya amayumba

Poliisi ye Bweyogerere ekutte abasajja babiri ku misango egyekuusa kukumenya amayumba, okubba emotoka wamu n’obubbi obubadde bwakabaawo mu bitundu bye Ntebetebe -Bweyogerere Kira Municipality, Wakiso District.

Bano kuliko Faizal Kiseeka ne Frank Ssembatya 26 nga bano bakirizza nti benyigira mukumenya ennyumba ya Robert Muwanika ne Mark Wafula mwebabbira ebintu by’omunju Laptops, TV flat screen, Amasimu n’ebirala bingi.

Poliisi era yasobodde okuzuuliramu ebiwandiiko by’okusoma era abakwata nebagitegeeza nti ebintu ebirala babiguza abatunda ebintu ebikadde ku luguudo lwa Buganda Road ne Bombo Road.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
NRM ASPIRANTS RETURN EXPRESSION OF INTEREST FORMS TODAY.