Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 631 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Poliisi ekutte Ambulance bbiri mu Kampala nga zitisse abasaabaze

April 3, 2020 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala ekutte emotoka bbiri agafa e mulago ezibadde zikozesebwa okusaabaza abantu okuva mu Katanga e Wandegeya nga babatwala e Kanungu mu kifo ky’abalwadde.Okusinziira ku Poliisi emotoka zino zakwatiddwa ku Check Point y’e Wandegeya oluvannyuma lw’okutemezebwako. Emotoka zino kuliko UAB 355Z ne UAH 832W nga za kitongole ki Revival Fire Ministries ekisagibwa mu United Kingdom.Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abasaabaze 4 nga buli omu bamusasuzza emitwalo 10 okubatwala. Ddereeva omu Sserukenya David akwatiddwa era nga akuumirwa ku Poliisi y’e Wandegeya ate ye munne adduse.Onyango agamba nti emotoka zino bwezikebereddwa musangiddwamu ensawo z’omuceere, sukaali, amatooke n’ebintu ebirala era wano webasizidde okulagira ab’ebyokwerinda okwekaanya entambu y’emotoka zino.