Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 385 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Poliisi ekutte akulira abakama amafuta mu motoka e Mulago

June 14, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi yโ€™e Wandegeya bweyakoze ekikwekweto ku bigobero e Mulago ku Mulago Mortuary washing bay, Busia zone, Wandegeya Parish Kawempe Division. Kino kyadiridde akatambi akabadde katambuzibwa ku mutimbagano nga abantu 3 bakama amafuta okuva mu motoka ekika kya Double Cabin.
Poliisi yakutte Mutebi Peter 30 ngono mutuuze ka Quarter Zone, Kyebando Parish Kawempe. Poliisi ekyayigga; Asiku, Lubwama, Mawanda John, Emma ne Kalema. Okunoonyereza kulaga nti emotoka ezisoba mu 20 zezikamwa buli lunaku ngamafuta gano bagaguza abavuzi ba booda booda ku 5000/= buli liita 2 ate ggo amafuta ga Diesel bagatunda Bwaise.
Bya Kamali James