Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte agambibwa okubba emotoka e Nansana

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuntu omu ategeerekese nga ye William Ssali aka George Byarugaba nga kigambibwa nti abadde yennyigira mu bubbi bw’emotoka.
Ono okukwatibwa kyaddiridde okwegoba ne Poliisi y’omu Lubigi ku Northern Bypass.
Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Nansana kubigambibwa yennyigira mu kubba emotoka okuva ku kitebe kya Nansana Municipal Council nga 17-6-2020. Kigambibwa nti waliwo omubbi eyali avuga emotoka ekika kya Caldina nga Nzirugavu nnamba UAV 235M nagireka e Nansana nabbawo emotoka ekika kya Ipsum nnamba UAN 433K nga njeru nga ya Robert Mukasa omutuuze w’e Nansana.
Emotoka yemu eno Caldina nga 9-7-2020 nga ku luno eteereddwako ennamba endala UAP 014M abaagirimu babba emotoka Toyota Corona nnamba UAE 965V eya kiragala nga ya Maimuna Nanono, omutuuze w’e Nansana Matooke.
Nga Poliisi yeyambisa Kkamera enkettabikolwa emotoka yemu yalabiddwako e Nansana era abasirikale nebatandika okugigoba negikwata ne Ddereeva wabula ababaddemu abalala babiri nebadduka.
Abasirikale bwebagikebedde basanzeemu ennamba y’emotoka nnamba UAV 235M gyebakozesa okutambuza emotoka zebabbye. Bwebakebedde ennyumba ye esangibwa mu Kitunzi Zone 5 basanzeemu ebisumuluzo by’emotoka 30 n’ebintu ebirala omuli ensawo, flash disk wamu n’empapula za bail 3 nga byonna byekuusa ku bubbi bw’emotoka.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort