Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti News: Uganda buli kimu kifu, owola otya omuntu obukadde 50 ngalina okukuwa amagoba obukadde 250! Mususse!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 323 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi ekutte agambibwa okuba omubbi e Nabweru

April 26, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire; “Bambega okuva ku Poliisi e Nansana bakutte omubbi nga nebanne batandise okunoonyezebwa oluvannyuma lwokwenyigira mu bubbi mu kitundu kino.
Akwatiddwa ye Ssozi Derrick 20, nga yakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi oluvannyuma lwokutemezebwako abatuuze mu bitundu by’e Kisumu, Nabweru. Ssozi omutuuze w’omu kitundu kino yasangiddwa ngalambula ekitundu ngaweese ensawo era abasirikale bwebakebedde ensawo eno nebasangamu ejjambiya ngezingiddwa mu lugoye olumyuufu, obwambe 2, ennyondo 2 wamu nemakanzi ennene 1.
Bambega beyongeddeyo ewuwe gyebasanze ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe okuli; TV 2, woofer 2, fan 2, master keys 3, essimu ekika kya Tecno 1, ssente enkalu obukadde 4 mu emitwalo 5 n’ebintu ebirala ebyomunju ebibalirirwamu obukadde 13.
Poliisi era yazudde piki piki 2 nnamba; UFA 513J ne UFL 408A, 05 Notes of South Sudanese pounds in the denomination of 50, 50 notes of Kenyan shillings, one hundred rupees, essimu 5 ekika kya Infinix hot 10, W$Q (blue), Tecno smartphone, MI smart (pink)ne itel (mapeesa), lap smart television, 02 sets of subwoofers HiFi and smart, 01 DVD player, 02 fans, 01 ADH refrigerator n’ebirala.”