Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 453 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi ekutte abbira ku byuuma bya ATM

August 21, 2019 · Mubiru Ali
Poliisi y’e Matugga ekutte omusajja abadde yegulidde erinnya mu kubbira abantu ku byuuma bya ATM. Atukwasa Julius nga mutuuze mu Ttawuni y’e Kitagata mu Disitulikiti y’e Sheema yeyakwatiddwa ku kyuuma kya ATM e Matugga nga yefudde amuyambako okuggyayo ssente kumbe nga ayagala kumubba.
Omukyala ono yabadde mugezi namwekegera olw’ebikolwa bye bwatyo nakuba enduulu eyasombodde abantu abazze nebamukwata n’oluvannyuma nebatemya ku Poliisi.
Atukwasa abadde agenda ku byuuma eby’enjawulo nateega abantu ab’enjawulo babba. Ono abadde afuba okulaba nti akwata Pin code yo era nga bwatuuka okukuddiza ATM Card akuwaamu yiye olwo nadduka nagenda ku ATM endala naggyayo ssente zo.
Atukwasa agamba nti ddala kituufu abadde abba era nga bwebatandika okumunoonya mu Sheema kwekuddukira e Kampala.