Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 182 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte abazigu abalumba mobile money e Mubende

June 21, 2023 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte abazigu abalumba edduuka lya mobile money ne ddipo ya soda e Mubende mwebakuulitira n’ensimbi eziri mu bukadde e 100 n’okutta omuserikale wa Poliisi Cpl Olaya Joseph eyali agezaako okubawondera. Kigambibwa abazigu bebamu era babba mobile money mu bitundu bye Kyengera nga okusinziira ku poliisi bano bakwatiddwa mu kiro ekikeesezza leero.
Poliisi egamba nti emmundu eyakozesebwa yaayo era ngeno bagibba ku musirikale wa Poliisi bweyali atuuka ku Kitebe kya Poliisi e Nsanga abazigu abaali batambulira ku booda booda bagimusikambulako nebeggyawo bweyali ava ku booda booda.
Abantu 6 bebakwatiddwa wamu ne piki piki gyebabadde beyambisa okubba.