Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 388 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ekutte abayekera 8 – CP Fred Enanga

December 21, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga agamba nti bakutte abayekera 8 ab’ekibiina kya Uganda Coalition Forces of Change – UCFC nga bano babadde benyigira mukukola obulumbaganyi ku Poliisi nebatta abasirikale ba Poliisi nebabatwalako emmundu.
Enanga agamba nti bano bekuusa ku kibiina ky’obuyekera ekiggya ekyateekeddwawo okusuula Gavumenti, ayongeddeko nti Makumbi Moshi aka Engineer yasobodde okubabuulira ani yabayingiza mubuyekera nti era bagenda kumunoonya. Bano bagiddwa mu lutobazi ku kyalo Kabuusi, Bukuya Town Council mu Disitulikiti y’e Kassanda gyebabadde bekukumye nebasobola okuzuula emmundu 2 kwezo 4 ezabbibwa.
Bano 8 bavunaaniddwa emisango okuli obutemu, obutujju, okubeera n’ebyokulwanyisa. Bano kuliko; Makumbi Moshi aka Engineer, Walugembe Stuart Sseguya aka Kufatteeka, Mulindwa Julius, Masembe John Nasif, Byamuremire Paul, Ssenyonga Bob Robert, Nabukenya Teopista ne Matovu Sylvester.