Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ekutte abatigomya Kampala n’emiriraano

August 12, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala n’emiriraano ekyagenda mu maaso n’ebikwekweto okufuuza abamenyi b’amateeka abasuza abantu nga tebebase. Nga eyita mu kikwekweto kyayo ekya Dumisha Usalaama nga kikulemberwamu Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Cp Moses Kafeero Kabugo egamba nti ekutte abavubuka abenyigira mu kunyaga side mirror z’emotoka, amataala, sport rim, okunaykula amasimu n’obusawo mu juamu, okutambuza ebiccupuli bya ssente n’okumenya amayumba.

Bakutte bakifeesi 120 bakwatiddwa ku Old Kampala, 59 ku CPS Kampala, 70 e Kabalagala, 79 e Katwe ne 42 e Wandegeya. Basangiddwa n’ebyuuma ebikozesebwa okumenya amayumba n’emotoka, master key, ensawo z’enjaga wamu n’ebintu ebibbe.