Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 302 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

poliisi ekutte abatematema nnanyini kkampuni ya romi’s wine

March 11, 2019 · Mubiru Ali

Wabaddewo akavuvungano nga n’amasasi ganyoose Poliisi bwebadde egezaako okukwakwata Swaib Lubega agambibwa okuba nga akulira ekibinja ky’ababbi, Swaib agaanye okwewaayo mu mikono gya Poliisi bwatyo nasimbula motoka ye ekika kya Subaru Legacy nnamba UBE 894M adduke era bwetyo Poliisi nemwolekeza amasasi agayise mu ndabirwamu ne gamukwata wabula era neyemulula nadduka nabuuka ekikomera ky’e Kkanisa ya Life way Tebernacle nadduka.
Bano okukwatibwa kyaddiridde bambega okusooka okukwata munnaabwe Vicent Lukwago wiiki ewedde e Makindye ne mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAV 989H eyabibbwa mu maka ga Robert Migadde nannyini Romi’s Wine agasangibwa e Kyengera-Kazinga gyabasanga ng’ono yagikyusa ennamba era nga ye yalokomye banne.
Abakwatiddwa battottodde engeri gye baalumbamu amaka ga Migadde n’engeri gye baayingira munda ne batemaatema omugagga n’abomu maka n’emmundu y’omukuumi saako ebintu omuli Ttiivi, ssente n’ensawo z’omugagga omwali ssente.
Bino byonna byaliwo mu kiro ekyakeesa Febraury 19, era ng’abantu basatu okuli omukuumi Shaban Were, Donantus Kasangati omukozi , Brenda Atukunda kw’ossa omugagga ne mukyala we baalumizibwa .