Poliisi nga eri wamu n’abekitongole ky’ebyebibira mu Ggwanga ekya National Forest Authority (NFA) bakutte abantu mukaaga abaasangiddwa nga balima mu kibira kya Mpanga Forest Reserve mu Mpigi Town Council ne baggalirwa lwa kusaanyawo kibira kino ekimu kyokka ekibadde kisigaddewo mu Mpigi, Butambala ne Gomba.
Bano kuliko Leonald Ssekitoleko 70, Robert Kimbuseeko 35, Muhamad Sserule 58, Emmanuel Sseruga 29, nga bonna batuuze b’e Nseke ne Night Namusoke 40, ne Prossy Nakubulwa 27, nga bano b’e Mpambire nga bakwatiddwa lubona nga balima mu kibira Mpanga ku kyalo Nseke.
Okusinziira ku avunaanyizibwa ku bibira mu kitundu kino, Hope Twikiriza, agamba nti abakwate babadde baasaanyizzaawo ekitundu ky’ekibira kino n’ettundutundu ly’olutobazzi olusemberedde ekibira nga beekweka mu kusimba emiti gya kalittunsi.
Yagambye nti abadde amaze ebbanga ng’alinnya akagere abantu bano kyokka nga bwe bagendayo okubakwata nga badduka ekimuwalirizza okukola ekikwekweto ne poliisi.
Abaakwatiddwa bakira balumiriza abakungu ba NFA okutunda ekibira nga bakiguza abagagga ne basimba emiti gya kalittunsi nga bano be babawadde olukusa okulima mu kalitunsi waabwe emmere y’okulya okutuusa nga kalitunsi akuze.
Akulira poliisi ye Mpigi, Erias Twesigye yagambye nti abakwate baaguddwaako omusango gw’okusanyawo ekibira kya gavumenti ku fayiro nnamba SD; 51/18/02/19 era baakutwalibwa mu kooti bavunaanibwe.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.