Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi ekutte abasuula ebibaluwa mu Kampala

November 15, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ekutte abantu abawerako lwakusaasanya bibaluwa ebitiisatiisa wamu n’okusaba ssente okuva bantu ab’enjawulo mu Kampala n’emiriraano nga balina ekibinja kyabwe kye bayita “The People’s Agency’ nga kikulirwa John Mwanje aka Bradon aka Brian.

Abalala abali mu kibinja kino kuliko; Kenneth Sebaggala omutuuze w’e Nansana, John Bosco Kimera nga ono abeera Sweden, Douglas Kakande a.k.a Darion omutuuze w’e Masanafu, Herbert Mwanje, Allan Kitonsa ne Herbert Muwonge, nga ono muvuzi wa Safe boda atambuza ebibaluwa.

Bano okukwatibwa kyadiridde ebitongole by’ebyokwerinda okukwata abasajja abebijambiya abalumba Abayindi nebabba obukadde 100 n’ebintu ebirala. Hakim Kigozi nga mutuuze w’e Nansana yeyalonkomye banne ababadde bagenda okulumba abasuubuzi b’omusenyu mu Lwera.

Poliisi era etaddewo ekirabo kya bukadde 20 eri oyo yenna asobola okugituusa ku John Mwanje oba okubawa amawulire gonna agasobola okubatuusa waali ono nga kigambibwa yali emabega w’obubbi obw’amaanyi mu Kampala.