Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 295 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

poliisi ekutte abasajja bana abasangiddwa basala waya z’amasanyalaze e lwengo

March 13, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi ekutte abantu 4 mu Greater Masaka lwakutaataaganya mirimu gya Gavumenti nga babba ebintu ebikozesebwa okutuusa amasanyalaze mu byalo. Bano kuliko; Byansi Vincent, Kayondo David, Natukunda Benon ne Kamugisha Edison nga bonna batuuze b’e Lyantonde.

Bano bakwatiddwa okuva mu Sub-County y’e Malongo mu Disitulikiti y’e Lwengo nga basangiddwa ne wire z’amasanyalaze nga babadde basisaze ku miti kwezabadde zakawanikibwa mu nkola ey’okubunyisa amasanyalaze eya Rural Electrification Program.

Bano babadde batambulira mu motoka ekika kya Toyota Wish nnamba UAZ 161Q, nga nzirugavu. Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Lwengo nga bwebalindirira okutwalibwa mu kkooti.