Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 278 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte abasajja baayo babiri

March 13, 2020 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Kabalagala mu Kampala ekutte abasirikale abakulu mu Uganda Police Force babiri ku bigambibwa nti babadde bagezaako okuggya ensimbi emitwalo mukaaga egya Ddoola (obuakdde 223) okuva ku musuubuzi wo mu Kampala.
Abakwatiddwa kuliko Assistant Superintendent of Police Simon Peter Nkonge ne Allan Ssendegeya nga bonna bombi baali mu kitongole kya Poliisi ekyagibwawo ekya Police Flying Squad ekyali kirwanyisa obuzigu bw’emmundu.
Ababiri bano n’omuntu owabulijjo Martin Kimbowa bakwatiddwa lubona nga bagezaako okuggya ku musuubuzi womu Kampala Vincent Luyinda ssente e Kyengera gyebabadde bakiriziganyizza okusisinkana.
Luyinada ye nannyini Kkooki Tower esangibwa opposite ne Central Police Station (CPS), n’ebizimbe ebirala mu Kampala. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abasatu bano babadde bakubiri omusuubuzi amasimu agamutiisatiisa nga bagamba nti yassaddaakira omuntu mu kizimbe kye bwebaali bakizimba nga bamusaba ssente basirikire ekyaama.
Luyinda yatuukirira mikwano gye omuli ne Maj. Gen. Elly Kayanja abamuwabula awaabe omusango ku Poliisi naye kyeyakola e Kabalgala era bwebamukubidde okusisinkana bakiriziganyizza basisinkane e Kyengera, Uganda Police Force n’abasirikale okuva mu bitongole ebirala ebyebyokwerinda webabakwatidde.