Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 247 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Poliisi ekutte abasajja 5 mu kiro ekikeesezza olwaleero

June 7, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwekutte abantu 5 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka nga bano babadde batambulira mu motoka nnamba UBJ 267T. Oluvannyuma lwa Poliisi okutemezebwako yayanguye mangu okukwata bano netaasa obumenyi bw’amateeka obwabadde bugenda okubeerawo.
Mu kikwekweto ekyakoleddwa ku Calender e Makindye, Poliisi bweyekebezze emotoka yaabwe yasanzeemu obukookolo, ebyuuma ebisala enzigi n’amajambiya.