Breaking
News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 351 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Poliisi ekutte abasajja 22 besanze bakozesa abaana abato ekikungo

October 25, 2020 · Mubiru Ali
Olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro Uganda Police Force okuva ku Clock Tower oluvannyuma lw’okutemezebwako yakoze ekikwekweto mu Base zone, Katwe II parish nekwata abaana abawala 13 abatanetuuka wamu n’abasajja abakulu 22 nga babadde mu kaboozi akawamu.
Abaana abawala 12 bebasangiddwa mu kikolwa n’abasajja abakulu.
Kigambibwa nti Muhwezi Mustapha yategeka obubaga buno obwo munnyumba olwo nasoba abaana abawala okuva mu byalo nabaleeta nga tebamanyi nti bagenda kwetunda.
Bano bavunaaniddwa emisango okuli; okusobya ku baana abatanetuuka, okukusa abantu, okugulirira okusobya ku baana, wamu n’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okuviirako okusasaana kw’ekirwadde kya #COVID-19 n’emisango emirala.
Era Poliisi yakoze ekikwekweto mweyakwatidde abantu 90 ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro ku Fornt Page Hotel Zana nga bano bavunaanibwa kumenya biragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19. Abakwatiddwa bonna bakuumirwa ku Poliisi y’e Katwe ne Nateete.