Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 279 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte abantu 9 abategese ekivvulu

December 14, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo natgeeza nti abantu 9 bebakwatibwa kubikwatagana n’ekivvulu ekyategekeddwa ku Ddungu Resort e Munyonyo mu Kampala.
Abakwatiddwa kuliko abayimbi aba Nigeria okuli Omah Didia aka

Omah Lay ne Temilade Openyi aka Tems, ne Manager wa Tems, Muyiwa Awomiyi.
Abalala kuliko; Benjamin Kabura (Omutegesi), Ivan Ddungu, Manger w’ekifo ne Prim Kasana (Event Manager) eyaleeta Omah Lay okuyimba. Abalala kuliko; L/AIP Fabiano Juma, No.51328 PC John Bosco Ocaba ne No.67898 PC Paul Odongo.
Bano bakwatiddwa ku misango egyekuusa ku kukola ebikolwa ebiyinza okuviirako okusaasana kw’ekirwadde ekikambwe ekya #COVID-19. Bano n’abalala abatanakwatibwa bategeka ekivvulu ekimenya ebiragiro bya Ministry of Health- Uganda. Bano kigambibwa nti basooka kutegeka kabaga ka kyamisana n’ekyeggulo wabula ekiro nebatandika okuyita abayimbi okuyimba.
Okunoonyereza kulaga nti bano bekobaana n’abasirikale ba Poliisi mu kitundu ababawa obukuumi. Abasirikale bakwatiddwa n’abalala 3 bakyanoonyezebwa olwokujjeemera ebiragiro. https://youtu.be/8OQfj1Mru8U