Poliisi ekutte abantu 13 abateeberezebwa okutigomya Bannakampala

Uganda Police Force mukugezaako okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kya Clock Tower, Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweto nga 18-Jan-2022 mweyakwatidde abatebeerezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 13 nga bano babadde bateega abavuzi b’ebidduka mu jjaamu nebanyaga obusawo, amasimu n’ebintu ebirala.
Mu bano mulimu Ibrah Jjemba ono nga yakulira ekibinja kino ngono akozesa empeta ku ngalo ze okukuba abantu nabayuza ffeesi nga tanabba bintu byabwe.
Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Katwe nga bavunaanibwa emisango okuli okusangibwa n’ebiragalalagala wamu n’obubbi.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply