Latest News
0

Poliisi ekutte abamenyi b’amateeka 424 mu Kampala

Poliisi mu Kampala olunaku lwaleero ekoze ekikwekweto mu kibuga wakati n’emiriraano okumala essaawa 4 nekwata abamenyi b’amateeka 424. Ekikwekweto kino kigenderedde okukwata abavubuka abenyigira mukunyakula amasimu, obusawo n’ebintu ebirala.

Ekikwekweto kino kikoleddwa mu bitundu by’e; Katwe, Nsambya, Kisenyi, Old Kampala, Namirembe road, Wandegeya, Kabalagala, Jinja Road, City centre, Nakivubo channel n’ebitundu ebirinaanyewo.

Abamu ku bakwatiddwa babadde bateebwa ku kakalu ka Kkooti nga ate abalala balina ‘bond’ za Poliisi. Poliis egamba bano bagenda kutwalibwa mu kkooti ez’enjawulo bavunaanibwe.

More Similar Posts

Menu