Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte abalala 5 ku by’okutta aba Boda Boda

Poliisi mu Kampala n’emiriraano, nga ekolera wamu n’ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu ekya Flying Squad egamba nti bakutte abantu abalala 5 ku bigambibwa nti babadde benyigira mu kubba wamu n’okutemula aba Boda Boda mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala n’ebitundu ebirala.

Bano kuliko; Tamale Aloysius aka Sekyewa Patrick, aka Young Mulo; Senyonga Umar, Mubale Bob aka Musoga Ben, Bandiho Majidu aka Kagame ne Mugisha John Bosco aka Mukiga.

Kigambibwa nti ekibinja kino kibadde kikulirwa Tamale Aloysius nga ono ye omulimu gwe kubadde kuziga bifo wakukuma banne nebagwira ayitawo nebamutugga n’oluvannyuma nebakuliira ne Piki piki. Oluusi babadde nga bapangisa Boda boda nebatuuka mu kifo ekiziyivu nebamutuga.

Bano bagamba nti mu bitundu by’e Makindye babadde bakattayo abantu 6 nga bababbako Piki piki nga bano kuliko; Nsubuga Abdallah gwebatta nga 21-January-2019 nga yali avugira ku siteegi y’omu Kizungu.

Nga 13 – March – 2019, batta Galete Emmanuel, eyali akolera ku siteegi ya St. Agnes, ku Salama road.
Nga 24 – April – 2019, batta Damiano Ssekalaba ku Country Club, Makindye, nebabba piki piki ye nnamba UEW 256G.
Nga 29 – May – 2019, mu Kanisa Zone Makindye, batta owa Boda Boda atategeerekeka mannya nebatwala Piki piki ye.

Nga 2 – June – 2019, batta Tom Malaba e Makindye.

Nga 3 – June – 2019, batta Nkata Godfrey mu Waswa Zone, Makindye.

Kigambibwa nti bano era balina emisango emirala 5 ku Poliisi ya Old Kampala omuli okubba Piki piki wamu n’okutta Derrick Mulindwa nebatwala Piki piki ye.

Okunoonyereza kulaga nti Aloysius Tamale yabadde nga afuna aba Boda boda bebagenda okubba, era nga yanoonya akatale ka Piki piki ezibibbwa nga bazitunda ku Muganzirwaza , Nyanama n’e Mutundwe n’oluvannyuma nebagabana ssente.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort