Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 328 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte abakuumi ababba obukadde 100 ku musuubuzi gwebaali bakuuma

July 19, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nti ekutte abakuumi ba Kkampuni y’obwannanyini babiri nga bano babba obukadde 100 ku Musuubuzi gwebaali bakuuma e Kamwokya mu Kampala oluvannyuma lw’okunoonyezebwa okumala enaku 10.
ย 
Bano nga bakuumi ba Kkampuni ya Tight Security Company Limited nga bagiddwa mu Wooteri emu e Kaabong gyebabadde bekukumye. Poliisi yasobodde okuzuula obukadde 50 ku bukadde 100 zino zasangiddwa n’abakwate.
ย 
Alex Abok ne Anthony Ayor, bateeka omusubuzi Kunal Sethi, 35, nga musuubuzi wa zaabu ku mudumu gw’emmundu nebamubbako obukadde 100 nga 9-July-2020.
ย