Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 399 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi ekutte abakuba owa KCCA

May 22, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Nakasero olunaku lw’eggulo yakutte omuvubuka Kidaida Japhali ne munne Matovu Ashraf aka Steven lw’okukuba wamu n’okubba Ssekamate Mathias omukozi wa Kampala Capital City Authority – KCCA nga kati ali mu ddwaliro e Nsambya apookya nabiwundu byeyafuna ku lw’okuna wiiki ewedde ku ssaawa nga kumi nabbiri ez’okumakya ku Duster Street.
Kamera za Poliisi enketta byalo zezakwata Kidaida nga akuba Ssekamate ejjinja ate oluvannyuma nadduka n’ebintu byeyamujjako.
Bano bakuumirwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala nga bwebalindirira okutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe emisango okuli okulumya omuntu wamu n’obubbi.