Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 251 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi ekutte abakazi babiri lwa bubbi

November 22, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ya Mini Price ekutte abakazi babiri abaagenze mu dduuka eritunda engoye nga beefudde abasuubuzi ne babuzaabuza alikolamu ne babbayo engoye ezibalirirwamu obukadde bubiri.

Shanteel Mashaba ne Zawad Ntabangayima baagenze mu dduuka lya Justine Masika erisangibwa ku kizimbe Katongo ku Nabugabo nga beefudde abaagala okugula engoye wabula ne bazibba oluvannyuma lw’okumubuzaabuza.

Akulira poliisi ya Mini Price, Fabian Baryayamba yagambye nti abakazi bano baagenze n’ekiveera ku dduuka lya Masika ne beefuula abakebera engoye wabula ng’ezimu bazipakira mu kiveera oluvannyuma ne bagenda nga baziteresa omu ku batembeeyi ku mwala gw’e Nakivubo gye baazikukunudde.

Mashaba yagambye nti yaguze engoye ze wabula ababbi ne bazimubbako kwe kusalawo okugenda mu dduuka alondeyo z’anaatwala kuba omwami we ye yamuwadde ssente z’okusuubula nga yabadde tasobola kuddayo ng’ayanjala ngalo.

Bagguddwaako omusango oguli ku fayiro SD: 29/21/11/2018.