Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 272 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte abagambibwa okwenyigira mu kubba piki piki

October 31, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu bitundu by’e Katwe bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako ku bubbi bwa booda booda wamu n’obutemu obususse.
Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu by’e Nansana ne Wakiso okukakkana nga abantu 7 bakwatiddwa okuli; Kikabi Sufyan (mutuuze w’e Ganda) – Kalyango Edward (Mutuuze w’e Mende) – Kisekka Simon (Nansana) – Serwadda Hassan (Nabweru) – Ntale Yasin (Nansana) – Isma (Wansanso) – Shamimu (Ndejje).
Bano bonna bakirizza nti babadde benyigira mu bubbi bwa booda booda.
Ebyazuuliddwa mulimu piki piki 3, ebyuuma ebikozesebwa okukyuusa chasis ne engine numer, sipeeya wa piki piki n’ebirala.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe