Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 444 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte abagambibwa okutta Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere

October 23, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte abantu 6 okuli nagambibwa okuluka olukwe lwokutta Aggie eyali Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere.
Onyango ategeezezza nga abasirikale baayo okuva mu Crime Intelligence wamu nebambega bwebakutte Edward Kaweesa nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’ettemu lino era nga bamukubye essasi mu kugulu bweyabadde agezaako okudduka.
Kaweesa ne banne okuli; Jimmy Serunjogi, Robert Mwanje, Ali Muteesa, Juma Busulwa, ne Mugambe Pius, bakwatibwa ku bbalaza okuva mu Dube parking yard.
Abalala 5 okukwatibwa kyaddiridde Poliisi okwetegeereza essimu ya Kaweesa. Poliisi era yazudde piki piki nnamba UFQ 934K ne UFB 788Z wamu ne layini z’amasimu 174 ezemikutu egyenjawulo nga kigambibwa zino zandiba nga zabantu bebba oba bebattemula.