Breaking
News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Poliisi ekutte abagambibwa okutigomya abantu ku Clock Tower 13

January 19, 2022 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mukugezaako okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kya Clock Tower, Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweto nga 18-Jan-2022 mweyakwatidde abatebeerezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 13 nga bano babadde bateega abavuzi b’ebidduka mu jjaamu nebanyaga obusawo, amasimu n’ebintu ebirala.
Mu bano mulimu Ibrah Jjemba ono nga yakulira ekibinja kino ngono akozesa empeta ku ngalo ze okukuba abantu nabayuza ffeesi nga tanabba bintu byabwe.
Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Katwe nga bavunaanibwa emisango okuli okusangibwa n’ebiragalalagala wamu n’obubbi.