Poliisi ekutte abagambibwa okukuba ebiccupuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango mu Uganda Police Force nga kiri wamu ne Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweto ku kibinja ky’abantu ekigambibwa okuba nga kibadde kikuba ebiccupuli bya Ddoola nga bano bagiddwa ku Linca Hotel mu Ndeeba, Kampala.
Poliisi ekutte abantu 7 nezuula ne ddoola eziwereza ddala emitwalo 32 wamu ne safe. Abakwatiddwa kuliko; Muliisa Robert Ivan, omutuuze w’e Mpererwe; Asiimwe Hillary Mark, ow’e Namasuba Kikajjo; Tukwasibwe Rosemary, ow’e Kamwenge Rugonjo; Gatete Geoffrey, ow’e Kyebando Katale Zone, Tusasirwe Anitah ow’e Ndejje, Hadengho Moses ow’e Masajja A nga bano babadde balondoolwa okumala emyezi egiwerako.
Bano babadde bafere Bannayuganda nga babaguza ddoola ku bbeeyi eyawansi okusinziira kwebeera ku katale mu budde obwo.
 
Share.

Leave A Reply