Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 321 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Poliisi ekutte abagambibwa okubeera ababbi ba booda booda 6 e Wakiso

August 12, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwobubbi bwa booda booda okweyongera mu Disitulikiti y’e Wakiso, Poliisi okuva e Nsangi yakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako mweyakwatidde abantu 6 abateeberezebwa okubeera ababbi ba booda booda.
Abakwatiddwa mwemuli ne Muyingo Brian 26, nga mutuuze w’e Kinawa zone, Kasenge Ward, Kyengera Town Council ayasangiddwa ne Piki piki erowoozebwa okubeera enzibe nnamba UEY 444Y.
Poliisi bweyayazizza ennyumba mwabadde asula yasanzemu piki piki nnamba UFC 521M Bajaj, nnamba za piki piki bbiri okuli: UEY 649Y ne UED 711X wamu n’ebiwandiiko ebigambibwa okubeera ebijingirire.
ย