Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 202 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte abagambibwa okuba ababbi e Mubende

July 29, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttunduttundu lya Sahara Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Mubende bweyakoze ekikwekweto nga 28/07/2022 ku Kyalo Kibaati, Kasana Ward East Division mu, Mubende Municipality mu Disitulikiti y’e Mubende nekwata abantu 5 nga kigambibwa nti babadde benyigira mububbi.
Bwebayazizza amaka gaabwe bazudde ebimu ku bintu ebyeyambisibwa mukumenya amayumba, emmundu enjingirire wamu ne yunifoomu bbiri.