Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,015 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ekutte abadde yeyita owa UPDF

April 16, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force e Wandegeya ekutte Kyambadde Kasirye Haruna lwakusangibwa n’ebintu by’amaggye. Ono yakwatiddwa ku abasirikale ba Poliisi ku bitaala e Wandegeya ababadde bateekesa ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eby’okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19.D/CPL Amanya Bruce agamba ku bitaala by’e Wandegeya yayimirizza emotoka ekika kya Toyota Wish nnamba UBE 038V nga ayagala okumanya oba emotoka eno yabadde ne sitiika egikiriza okutambula.Mukukebera emotoka basanzeemu Pistol enjingirire nga nzirugavu wamu ne sitiika ya The Peoples Government – PG. Kyambadde nga mutuuze w’e Lugala Masanafu mu Rubaga agamba nti yabadde agenda ku National Task Force kuwaayo bintu.Poliisi egamba nti ono yasangiddwa ne ID y’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF wamu nakakebe ka tear gas.Abasirikale bagenze naye ewuwe okwongera okunoonyereza nebasangayo ekyambalo ekyefaananyiriza ekya UPDF wamu n’ebintu ebikozesebwa okumenya byebazuuliddwa mu maka ge. Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Wandegeya nga bwalindirira okutwalibwa mu kkooti avunaanibwe okwokusangibwa n’ebintu by’amaggye wamu n’ebintu ebimenya amayumba.