Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,218 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Poliisi ekutte abadde yeyita owa Poliisi e Namuŋŋoona

April 22, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Old Kampala bweyakutte Sulaiman Nkanda nga kigambibwa nti yabadde agezaako okubba piki piki nnamba UFL 990Q. Bino byabaddewo nga 19-April-2022, ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro mu Zzooni ya Namuŋŋoona.
Kigambibwa nti Mkada yabadde ku piki piki eyabadde evugibwa omuntu omulala eyategeerekese nga Aine, nayimiriza piki piki endala nnamba UFL 990Q, naggyayo kkaadi ya Poliisi enjingirire nga era nti ye D/AIP Byaruhanga Sulaiman okulaga owa booda booda nti yabadde musirikale olwa natandika okumukazaakaza lwaki yabadde avuga sipiidi.
Mukutya okungi omuvuzi wa booda booda eyategeerekese nga Bukenya Abdul yakiriza Sulaiman okuggyamu ekisumuluzo, wabula mu kadde ako Abasirikale ba Poliisi ababadde balawuna nga bakulembeddwamu OC Namuŋŋoona batuuse, Mkanda bweyabalabye nasuula kkaadi n’ebisumuluzo nadduka. Abasirikale bamugobye nebamukwata oluvannyuma lwokusiitaana naye nga kati akuumirwa ku Poliisi ya Old Kampala. Ono yaguddwako omusango gw’obubbi wamu n’okweyita kyatali.