Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 349 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte abadde yeyambisa ebyambalo byayo okubba Piki piki

June 25, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala nga yeyambisa kkamera enketta bikolwa ekutte Fuswali Isabirye nga ono babadde yegulidde erinnya mukubba Piki piki.
Omukwate babadde yefuula owa Poliisi nga alina n’ekyambalo kya Poliisi nga akola ebikwekweto mwakwatira aba Boda Boda nga aliwamu ne munne Moses Tukesiye nga bonna batuuze be Pallisa.

Kigambibwa nti Isabirye abadde akwata Boda Boda nalagira bannanyini zo okumusanga ku Poliisi erinanyeewo wabula nga abulawo Piki piki nazivuga nga azitwala e Pallisa gyalina omuguzi waazo.
Piki piki ezamukwasizza kuliko UER 349U ne UEV 434V nga zino yazikwatira ku Old Kampala kkamera nezimukwata ekifaananyi kye nekiterekebwa era nga leero bwakomyeewo mu kitundu kyekimu nezimulonkoma nakwatibwa. Ye munne Moses akyekwese e Pallisa era nga anonyezebwa. Piki piki abadde azitunda akakadde kamu.
Wakuvunaanibwa omusango gw’obubbi n’okwefuula kyatali.