Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 336 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi ekutte abadde avuga emotoka eriko ennamba enjigirire

May 23, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ya Kira Road mu Kampala ekutte Jeff Kalanzi 37, ow’e Mutundwe olwokuvuga emotoka eriko ennamba enjigirire, okweyita kyatali, wamu n’okubeera n’ebintu bya Gavumenti nga ate si mukozi wa Gavumenti.

Abadde avuga emotoka ekika kya Mark II nga nzirugavu ewandiikiddwako ‘M7 2040’ enjingirire nga ayambadde yunifoomu y’amagye ga UPDF wamu ne Radio Call eyekiccupuli.

Kalanzi era week bbiri eziyise kigambibwa nti yafera Ambrose Mworozi miriyoni bbiri nga amusuubizza okusisinkana Secretary General wa NRM Hon. Justine Kasule Lumumba nga era ensimbi zino zaali zakukola nteekateeka okumusisinkana.

Kalanzi abadde yeyita muyambi wa Secretary General wa NRM Hon. Justine Kasule Lumumba.

Kalanzi akuumirwa ku Police ya Kira Road gyanagibwa atwalibwe mu Kkooti.