Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 501 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte abadde abba nnamba z’emotoka

February 28, 2024 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte Muwanguzi Isaac 21, nga mutuuze w’e Salaama ku bigambibwa nti abadde abba ennamba z’emotoka. Isaac yakwatiddwa olunaku lw’eggulo e Kabowa oluvannyuma lwokumunoonyeza ebbanga. Okunoonyereza kulaga nti Isaac abadde abba ennamba z’emotoka nebyuuma ebirala ku motoka mu bitundu by’e Kabowa, Makindye ne Salaama.
Isaac abadde nga alekawo obubaka kwoba omufunira okuzza ennamba zabbye. Poliisi y’e Kabowa esaba abantu ababbibwako ennamba zaabwe okugenda e Kabawo ku Poliisi okukebera oba nga mweziri.