Poliisi ekutte ababbi b’emotoka e Nansana

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi ekutte abasajja babiri ababba emotoka okuli Mike Opidi ne Eric Okochil e Nansana. Oluvannyuma lw’obubbi bw’emotoka okweyongera nga ne Poliisi bwesala entotto, Poliisi ye Nansana esobodde okuzuula emotoka bbiri ezabibbwa. Ku monday ku makya ababbi bamenya amaka e Lungujja Kikumbi mu Katwe Division nebabba emotoka eyalimu GPS Tracker.

Nannyini motoka yaddukidde ku Poliisi e Kikumbi naloopa omusango ku bwebatyo nebatandika okulondoola GPS ye motoka eno nawa gyeri, bwatyo nga ayambibwako Poliisi balumbye ennyumba epangisibwa nga eri mu kikomera e Nansana West 2 Nakuule mwebasanze n’emotoka endala bbiri nga ziteereddwa mu Garage. Mukukebera emotoka endala basobodde okuzuula ebigikwatako era nebafuna nannyini yo.

Mukukebera ennyumba Poliisi Poliisi yazzudde nnamba z’emotoka, ebyuuma ebikozesebwa okumenya amayumba, Langi efuuyirwa ku motoka, master keys, amakufulu g’emotoka, card z’emotoka 31, switch 5, gear box n’ebintu ebirala bingi.

Share.

Leave A Reply