poliisi ekutte ababbi b’embuzi e kabale

Poliisi e Kabale ekutte abasajja bana ku bigambibwa nti babadde benyigira mukubba embuzi. Bano bakwatiddwa n’embuzi 12 mu motoka ekika kya Premio nnamba UAH 276W e Butobere nga wakava e Kabale mu Ttawuni.
Elly Maate omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kigezi agamba nti ku bano kuliko Naboth Ahimbisibwe, 32, (Ddereeva), Danson Tindimwebwa, 32, Edson Byamukama, 33 ne Ivan Sebuliba, 43.
Bano bwebzbuuziddwa bagambye nti embuzi bazibbye okuva mu maka 5 e Nyarushanje Rukungiri nga babadde bazitwala Kabale mu Ttawuni okuzitunda.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ssaabawaabi wa Gavumenti ogwa Baguma aguggyemu enta