Poliisi ekutte ababba ennamba ku motoka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi e Katooke ekutte abavubuka 3 abenyigira mu kubba nnamba za motoka nebasba banyinizo ssenete mu bitundu bye Katooke, Kibwa, Wamala, Nabweru, Lugoba, Kazo, Nansana ne Kawempe. Bano kuliko Kuraish Lubuulwa (17), Ramathan Kabooyo aka Amooti (22) ne Experito Ssengoba (19) nga bakwatiddwa ne nnamba za motoka 29.
Kino kyadiridde abatuuze okwekubira enduulu nga emotoka zaabwe bwezisusse okumenyebwa nebazibako ebintu wammu ne nnamba ababbi nebalekawo ebiwandiiko nga babasaba ssenet baziweereze ku mobile money balyoke babawe ennamba zaabwe.
Bano bwebabuziddwa Poliisi bakirizza emisango era nebatwala abasirikale ba Poliisi mu bifo eby’enjawulo webabadde bakweka ennamba zino.

Share.

Leave A Reply