Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live

POLIISI EKUTTE ABABADDE BATIISATIISA MMEEYA

September 8, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte abantu 3 Entebe kubigambibwa nti babadde batambuza ebibaluwa bikiro kitwala omunaku nga batiisatiisa Mmeeya wa Katabi Town Council Kalema Ronald n’abalala.
Ebbaluwa zino babadde bazitambuliza ku mukutu gwa Whatsapp, n’emikutu gya ‘social media’ emirala nga kino kibadde kireeseewo okutya mu batuuze.
Bano kuliko; Lubega William 27, nga makanika, nga mutuuze w’e Bunono, Katabi Town Council, Kirigwajjo Hasadu, nga yaliko kanyama wa Mmeeya Kalema mu kalulu akawedde wamu ne Baluku Ronald naye nga azzeemu okukwatibwa.