Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte ababadde bafera aba Clinic ne Pharmacy e Wakiso

Uganda Police Force ekutte omuntu era enoonya abalala 3 nga bano kigambibwa babadde bafera abantu mu bitundu by’e Wakiso nga beyita abakozi ba Uganda National Drug Authority.
Bano babadde batambulira mu motoka nnamba UBG 334A nga bafera aba clinic ne pharmacy mu Disitulikiti y’e Wakiso. Poliisi yategeezebwa ku bikolwa bino ebimenya amateeka bwetyo abakola mu CCTV Command Center e Nateete balagirwa okutandika okunoonya emotoka eno okuva nga 27/07/2020. Bano babadde balondoola emotoka eno okuuka nga 24-8-2020 nga beyambisa kkamera enkettabikolwa emotoka eno nebagikwatira e Kawempe.
Poliisi esaba abantu okugiyambako okukwata abalala abasatu abadduse okuli omusajja ono omunene asibye ettaayi, omukyala ayambadde mask wamu n’omukyala omweru abadduse.Ye eyakwatiddwa ye Orombo Dawson.
 
Poliisi erabula abantu bonna era nebasaba okwekubira enduulu ku Poliisi eri okumpi singa eraba abantu nga abo mu bitundu byabwe kuba abakozi b’ekitongole kya National Drug Authority bwebaba bakola ebikwekweto babeera ne Poliisi.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort